Photo by Javira Ssebwami, Cyclone Reporter
Ensi nga yetekeratekera okukuza olunnaku lwa bakyala nga 8/03 ekitongole ssettendero wa Makerere wamu kya sida kya kukuza olunaku luno mungeri ey’enjawulo.
Okwetegekera olunnaku lwa bakyala ku tandise lunaku lwa lero ku Ssetendekero wa Makerere ku ssomero lyekikula kaybantu era nga batandise n’okukumba okwakulembeddwamu pulofeesa Consolate Kabonesa omu kubakulira kitongole kya sida mu Makerere.
Olunaku lwabakyala lwakujjaguzibwa wansi w’omutwe ogugamba nti;
“enkyukakyuka eyokuzaamu amaanyi abakyala b’omukyalo n’abaana ab’obuwala” wano nga essira balisimbye nnyo ku mikisa gyebafuna saako neebibasomooza.
Bakutunulira ensonga ezisinga okukosa omwana wa Uganda ow’obuwala n’owobulenzi, abakyala saako n’abaami.
Ensonga zino zitukiddwako mu ngeri ey’okwogerezeganya, okubaganya ebirowoozo, ne ngeri endala nnyigi abaana ab’obuwala n’abobulenzi ze bayiseemu okulaga ebibanyigiriza.
Ebimu Ku birubirirwa byabwe, kwe kufuba okulaba nga waliwo omwenkanonkano wakati wabakyala, n’abaami, okulaba nga abakyala n’abaana ab’obuwala banyumirwa eddembe lyabwe ery’obuntu, okwewala obutabanguko, okwetaba mu by’obufuzi, amaanyi mu by’efuna, n’embeera y’obulamu mu byokuzaala ne ddembe.