- Poliisi egenderera okubasomesa n’okubalambika okusobola okwewala obumenyi bw’amateeka
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi yasazeewo okutuukirira abantu ababeera mu nzigotta okusobola okumanya ebizibu byabwe kuba okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti obumenyi bw’amateeka gye busibuka.
“Poliisi yasazeewo okukwatagana n’ekibiina kya European Union okusobola okumanya ebizibu abantu ababeera mu bitundu eby’enzigotta bye basanga naddala ebikwata ku buzzi bw’emisango n’obumenyi bw’amateeka n’okuzuula lwaki ababwenyigiramu gye basibuka,” Owoyesigyire bwe yategeezezza.
Yagambye nti okwogera n’abantu bano poliisi egenderera okubasomesa n’okubalambika okusobola okwewala obumenyi bw’amateeka kuba abasinga ku bakwatiddwa nga babwenyigiddemu basibuka mu bitundu bino nga Kisenyi, Katwe, Bwaise n’awalala kwe kusalawo okubatuukirira.
Doroth Ogoola okuva mu kitongole kya ‘International Organization for Migration (IOM) nga European Union’ mwe yayitidde okutuuka ku batuuze ababeera mu nzigotta yagambye nti baagala okuziba omuwaatwa oguliwo n’abantu ababeera mu bitundu bino.
Yagambye nti kyetaagisa okubatuukirira naddala abavubuka kuba be basinze okwenyigira mu buzzi bw’emisango mu bitundu bino. Bbo abatuuze b’e Katwe baategeezezza nti poliisi erina okuvaayo n’ebatuukirira basobole okugibuulira ebiri mu bitundu byabwe nga tennagendayo kukola bikwekweto.