Paapa Alagidde Ab’enyigira Mukubasanya abakyala banoonyerezebweko

Oluvanyuma lw’okukufuna okwemulugunya ku Bishop Juan Barros wamu ne munne Faaza Fernando Karadima mu ggwanga lya Chile, ku misango egyekuusa ku kukabasanya abantu mu ggwanga lino, Paapa Bergoglio Francis yawummuza abaweereza bano nga bwakola okunoonyereza ku bibogerwako.

Bishop Barros nga yalondebwa Paapa Francis okutwala essaza lye Osorno mu ggwanga lya Chile mu mwaka gwa 2015 azze yemulugunyizibwaako bannansi ba Chile, olw’okwekobaana ne faaza Fernando Karadima nga ono yatuusa ebikolwa eby’okusulika ennenge abavubuka abaali mu buweereza bw’e Kkerezia gyeyali atwaala.

Paapa Francis yawa Bishop Juan Barros ekibonerezo ky’okwegayirira wamu n’okuyita mu kusaba okumalira ddala omwaka mulamba nga bwebamukolako okunoonyereza okwekikugu.

saabasumba Charles Scicluna ow’e Malta nga ono azze ayambako okunoonyereza wamu n’okumalawo ebikolwa eby’obukaba mu baweereza ab’ekerezia ey’ekikatolika, yasindikiddwa okusobola okukola okunoonyereza okwekikugu ku misango egivunaanwa Bishop Barros wamu ne faaza Fernando.

Faaza Karadima avunaanwa okusulika ennenge abavubuka mu kibuga kya Chile ekikulu ekya Santiago okuviira ddala mu mwaka gwa 1980.

wano bannansi ba Chile baanenyezza nnyo Paapa Francis olw’okubasibako omuweereza omusiiwufu w’empisa kyokka nga tebaamusanyukira ne bweyali aweebwa obukulembeze bw’essaza lya Osorno mu mwaka gwa 2015.

Paapa ategeeezza nga bwajja okukangavvula abavunanwa ssinga afuna obukakafu obumala ku misango egibavunaanwa.

Related posts