Photo by Teopista Nakamya
- Omusomesa wa Makerere awonedde watono okugajjambulwa abayizi ababadde bataamye obugo.
Enkya ya leero abayizi b’e Makerere bakedde mu bwambalo bwabwe obumyufu nebekumamu omuliro okulaga obutali bumativu bwabwe eri omusomesa (lecturer) oluvanyuma lwokusazamu ekibuuzo kyabwe ng’abalanga okukoppa bbo kyebawakanya.
Dr. Anthony Juma Okuku , nga ono asomesa ssomo lya nkulakulana ya bibuga (Urban planning) musomero erya Social Sciences, yagudde kukyokya abayizi bwebamulumbye mu yaafeesi ye nebamulagira abalage ebyava mu kibuuzo kyebatuula.
Dr Okuku yesibidde mu yafessi kyoka kino tekirobedde bayizi kusigala nga balekanira wagulu saako n’okumusindikira ebigambo ebiraga obutali bumativu era ono poliisi yemutasizza ku bayizi abadde abakambwe ng’ennumba.
Bano basoose kwezinga ku mulyango nga bagezaako okukunga bannaabwe babeyungeko omulanga gwabwe gusobole okuwulirwa.
Engombe ya “weeeeeeeeweeeee” bweyeyongede okuvuga, teyaganyiza Dr. Anthony kusigala mu offiisi bwatyo nasalawo asisinkane abayizi mu buntu , nga wano yabadde nga akasuse ejjinja mu njuki anti tebamuwadde nalukusa kwogerako gyebali.
“Bazadde baffe basasula ssente mubudde, twagala wano marks” bwebategezeza omusomesa.
Kyoka omusomesa yagezezaako okwagala okusaako kakokola tondeka nnyuma, abayizi kyebatamuganyiza kukola, abayizi bano (abawala nabalenzi) bagezezaako n’okwagala okugajambula omusomesa wabwe n’ekibooko, poliisi ne taasa.
Kinajukirwa nti guno si gwe mulundi gwabwe ogusoose okwekalakaasa olwa “marks”, mu mattikira ga 2016 ne 2017, abayizi abamu nabo beekalakaasa lwa nsonga ya “marks” era tebattikirwa.
Comments are closed.