Obutemu, okubuzaawo abantu: Omuyizi we Makerere asimatukidde watono

 

Omuyizi wa Education yagudde mu batemu kulunnaku olw’omukaaga oluwedde mu Makerere era nakubibwa bubi nnyo.

Omuyizi ono amannya agasirikiddwa agamba yabadde ava mu kusoomako nebayizi banne (discussion) ssaawa ssatu ez’ekiro nga dda gyasula we yagwiridde mu battemu ababuzeko akatono okumumiza omusu.

Abazigu bano okutuusa Ku muyizi obuzibu bamusanga ku Guild Canteen.

“Bano baali abasajja mukaaga (6) nga bali mu byambalo ebiddugavu, ngenda okuwulira nga amaloboozi g’abasajja ana gagamba kill him [mu mute], natya, nennyimurira nga mpuze,”

“Wano abasajja ababiri nebanva emabega nebankuba akatayimbwa Ku mutwe nentandika okutiirika omusayi, guba gukyali gutyo, omulala nankasukira najjolo kyoka mukama yannyamba n’ekwata ensawo, omu yankwata mu bulago okugezaako okuntuga ,wabula nemwesimatukako, bwentyo nengezaako okudduka okukakana nga ngudde, wano nazirika,” omuyizi bweyatutegezeza.

Omuyizi ono agamba bweyadda engulu yaddukira ewa mukwano gwe ategerekeseko erya Irene eyamuyambako okumufunira booda nebamuddusa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okusobola okutaasa obulamu.

“Twatuuka mu ddwaliro ku ssaawa nnya (4) ez’ekiro, kyoka ekyannewunyisa batukolako ssaawa musanvu” irene yategezezza Omusasi waffe.

Olunnaku olw’eggulo omuyizi ono yasibuddwa , wabula yatuukidde ku Makerere police station okola sitaatimenti kyoka agamba ekyamugye enviri ku mutwe kwe kumusaba emitwalo 20000, ssaako n’omutwalo omulala ogw’okwewandiisa n’olwensonga teyasobodde kola sitatimenti kuba ezo ssente yabadde tazirina.

Kinajjukirwa nti ono omuyizi siyasoose okuggwa mu battemu mu Makerere, ssabiiti bbiri eziyise, Flavia asula ku Apex Hostel mu Kikoni, okusinziira ku mukwano gwe akola Education naye atulogyedde engeri munne gyegwa mu battemu awo okumpi n’e ssomero lya “Natural Sciences” era mu makerere.

Ono bamugyako essimu ssaako ne Laptop bwebatyo nebamulagira akyuke atunule emmabega bwebatyo abazigu abo nebasaako kakokola tondekannyuma

Related posts