Mu nteekateeka ey’okumalawo okulwanagana wakati wa Korea ey’omu mambuka n’eyomu maserengeta, omukulembeze wa North Korea Kim Jong Un asindise mwannyina Kim Yo-Jong okugenda mu south Korea nga omukiise w’eggwanga lye mu mpaka z’emisinde ezimanyikiddwa nga Winter Olympics ezitegekeddwa okutaba amawanga gano gombiriri.
Mwanyina wa Kim Jong Un yagenda okusooka okulinnya mu ggwanga lya South Korea mu lulyo lw’amaka agakulembera North Kortea era nga amawanga gombiriri gakukumba wansi wa bendera ya Korea eyayabuluzibwaamu gyebuli kati.
Kim Yo Jong mwanyina Kim Jong Un
Empaka zino zakuggulwaawo ku lw’okutaano luno mu ggwanga erya South Korea. Ebyafaayo biraga nga Korea lyaali ggwanga limu okutuusiza ddala mu mwaka gwa 1910 wabula ne lyabuluzibwaamu eggwanga lya America n’ekiwaayi kya USSR mu 1945, olw’enjawukana mu by’enkulaakulana wamu n’endowooza zaabona.