Oluvanyuma lw’omuyimbi Spice Diana okwatula lwatu Ku mpewo za Spark TV NTV ku lw’okubiri lwa wiiki eno nti yafuna obubonera 32 seniya mu ey’omukaaga , abantu bangi kuba na Uganda batandiika okumugerageranya n’omuyimbi wa ” Sitamina” Eddy Kenzo.
Kenzo gyebuvuddeko yategeeza abantu engeri gyebayinza okuterekamu ssente, wabula nga yabyogera mu ngeri yakifuula nnenge.
Era naye bweyali mukutu gwa TV emu, yategeeza abavubuka nga ensi bweyetaaga embalirira okusobola okubezaawo obulamu era yabakubiriza nti singa omuntu aba afuna enkumi nnya (4000 ) olunnaku, kimugwanidde akozesengako enkumi taano (5000), aterekeko enkumi bbiri (2000) ebigambo eby’ewuniikiriza ennyo abatuuze mu kaseera ako.
Era nga wano webasinzidde okumugerageranya ne Spice Diana ow’obubonero 32 ate nga namasomo yakola asatu (3) gokka okuli ery’ebyafaayo (History), Fine Art, n’olulimi oluganda, nga kino kiviriddeko abantu okwebuuza ebibuuzo oba Spice Diana yasomera kumulembe ki? ludawa? Era ani yali akulira eby’enjigiriza mu kitongole kya UNEB.
Oluvannyuma lw’abantu okugenda mu maaso nokwogera abayimbi baano Spice Diana yawaririziddwa okugyayo ebyava mubibuuzo bye ebya siniya ey’okuna nabiraga ensi era nategeza nti byeyayogera yaali nsobi wabula omuyimbi Kenzo atalina kyakwewoozaako yasazeewo kwekwasa Mukama.
Era yavuddeyo nawandiika ku mutimbagano gwe ogwa ‘Facebook Page’ naalaga nga byebogera bwebitalina kyebimujjako.