Kitalo! Omuyizi wa Ndejje SS eyali kawonawo mukabenje affudde

Timothy Njogeza (17) 0mulenzi eyali yasigalawo ku baana abaana abafuna akabenjje ddekabusa ku luguudo lwe Ndejje Bombo, Gulu Highway abaali bagenda okukima ebyali bivudde mu bibuuzo byabwe ebya UCE 2017 ku Ndejje SS avudde mu bulamu bwensi.

Timothy affiridde mu ddwaliro e Nakasero gyabadde afunira obujanjabi ngeno yatwalibwayo oluvannyuma lwobuvune obwamanyi mukabenje ddekabusa kulunaku olwokutaano (Friday 9, February 2018).

Kigambibwa nti, oluvannyuma lw’okufuna akabenje a emmotoka mwebaali ey’ekika kya Toyota Ipsum nnamba UAR 860 H eyalemerera omugoba waayo, okukakana nga eyingiridde ekimotoka kya tipa ekyali kitikka amattofaali ku mabbali g’oluguudo.

Kubaali mu mmotooka eno kwaliko Male Vincent, Ndugga Sedric, ne ssewajje Isaac bano nga bafiirawo mbagirawo.

Kyoka mu kaseera ako ye Timothy yasooka nasimatuuka era natwalibwa mu ddwaliro lwmagye erimanyiddwa nga Bombo Military Barracks eyo gyeyagibwa natwalibwa mu ddwaliro e Nakasero gyafiridde mu malya gebyemisana ( saawa musanvu ezemisana) golunaku lwaleero (Tuesday).

Timothy abadde yafuna obubonero 29 mu bibuuzo bya siniya eyokuna (UCE examinations results) era abadde mutabani w’omusumba Minaani owa Mbuya Pentecostal church.

Omu Ku boluganda b’omugenzi atutegeezeza Cyclone Times nga abasawo bwebategeeza nga Timothy omusaayi bwegwali gwamuyika mu bwongo era nga eky’okumulongoosa kyali tekisoboka okuggyaako okumusabira ennyo.

Related posts