“Gavumenti ssi ya nsikirano”pulezidenti wa Argentina alaalise.

Pulezidenti Mauricio owa Argentina nga ayogerako eri eggwanga.

 

Omukulembeze w’eggwanga lya Argentina Mauricio Macri ayisizza etteeka erissa ekkomo ku bukulembeze obwensikirano mu gavumenti ya Argentina. Kino kiddiridde abakozi ba gavumenti okuwa ab’enganda zaabwe emirimu mu gavumenti nga tebatunuulidde busobozi bwaabwe.

Macri ategeezezza nti abakozi ba gavumenti babadde basusse okuvumaganya gavumenti ye olw’okuwa ab’enganda zaabwe emirimu gyebatalinamu busobozi kukola.Ayongeddeko nti abo bonna abaafuna emirimu mu ngeri eno bakugobebwa era nga ssi bakuweebwa musaala omwaka guno.

Okunoonyereza kulaga nga gavumenti ya Argentina yakutereka ensimbi ezisoba mu bukadde bwa doola 70 ezibadde ez’okusasula abakozi abagwa mu kkowe lino omwaka guno.

Kinajjukirwa nga ebbago ku ngeri abantu gyebaweebwa emirimu gya gavumenti lyayanjulwa mu palamenti ya Argentina kyokka neritaweebwa mukisa kuwulirwa ekintu ekizze kyongera okuvumaganya obukulembeze bwa Macri.

Abakozi abasinga batandise okwegoba bokka ku mirimu nga ssi bakulinda kwanikibwa mu lujjudde.

Related posts