Aba Booda ku siteegi y’e Masaka abagambibwa okubanga bebasinga okukozeesa omusaayi omungi okusinzira kukitongole ky’etterekero ly’omusaayi mu ggwanga ekya Nakasero Blood Bank
Masaka: Abavuzi ba bodabooda bonna bakubiriziddwa okwettanira okugaba omusaayi kubanga bebasinga okugwetaaga okusinzira kwa’akulira eby’omusaayi mu kitundu kye Masaka.
Bino byogeddwa mwami Swaibu Sula Mbaaya bwabadde ayogerako ne bannamawulire. Wabula ono okwogera bino kizze oluvannyuma lw’ekitongole ky’etterekero ly’omusaayi mu ggwanga ekya Nakasero Blood Bank okuvaayo nebalaga ng’omusaayi bwegubaweddeko mu kiseera kino.
Wano waasinzidde naategeeza nti abantu tebaagala kuwa musaayi so nga guyamba bo naddala aba booda abasinga okugweyambisa oluvannyuma lw’obubenje bwebafuna entakera.
Ekireetedde ebbula ly’omusaayi mu kiseera kino be bavuzi ba bodabooda obutayagala kwenyigira mu kugaba musaayi ate nga bebasinga okugwetaaga. Balina okumanya nti omusaayi guno tegulina kkolero lyonna gyegukolerwa wabula ffe tulina okwekolamu omulimu okusobola okuyamba abo abaguli mu bwetaavu,” Swaibu bweyategeezeza.
Ate ye omusawo omukugu mu tterekero ly’omusaayi mu Masaka regional referal hospital omukyala Namanya mu kwogerako n’omusasi waffe, ategeezezza nti bateekeddwa okuba n’omusaayi oguweza units 1010 buli mwezi naye kati balinawo units 220 ekibaleetedde okutya ku ngeri omusaayi gyegukendeddemu.
Namanya ayongedde naategeeza nti ebifo ebisinga okutwala omusaayi omungi mu ddwaaliro ly’e Masaka kwekuli ward y’abaana, gyebalongooseza abazaala ssaako n’abobubenje.
Ayongeddeko nti mu kiseera kino etterekero ly’eggwanga lyetaaga omusaayi mungi okuyamba amalwaliro.
kyemuggamba aba boda boda babadde tebagabba musaayi?